OBUBAKA BW’AMAZUUKIRA (2021) ERI EGGWANGA – Metropolitan Jonah Lwanga

Abaagalwa Abatunuulira/Abawliriza

Kristo Azuukidde!

Mujje mulege ku musana

Oguva mu Musana ogutakya

Era mugulumize Kristo

Eyazuukira mu bafu!

Ekibinja Ekikristo, nga kisinziira awantu ku nsi, kikoowoola nga bwe kiyimba ensonga y’Amazuukira nga embaga; Okuzuukira kwa Kristo okuva mu bafu n’okugulumizibwa kw’ekikula Kye ekyobuntu. Mu byalibibadde bino, olulyo olwabantu lwonna luyitibwa. Buli muntu yenna akoowoolebwa. Okuva mu kizikiza ekikutte, embeera y’obutamanya n’ekibi, ku bikwata ku kikula kyennyini n’ekigendererwa ky’obutonde bw’abantu ekituufu. Kuba, mu nsi yonna, ekigendererwa ky’olulyo olwabantu ekituufu-ekirungi ky’olulyo olwabantu ekinnawamu, ekyo kye kivaamu omuteeru ogusookera ddala. Lwaki wendi? Nga ndi ekiriwo ekyefumintirivu era ekifumintiriza ne ku birala. Kino kye kyebuuzibwa buli muntu ekyokumusingi. Ku kyo, nga Kristo Omuzuukivu mu bafu era agulumizibwa kwe kwanukula eri ensi yonna.

Bwe tufuna ekitangaala okuva ku Kristo, Kigambo wa Katonda eyantuwala, ddala olwo tusukka emitendera gyonna egy’okulama obulami eminnansi era emimanyiire. Kwe kugamba, olwo lwe tusukka ebitusanyusa byonna ebiwubivu: i) nga okubeerawo obubeezi, obulungi mu kikula (mutendera gwa kulama bulami); ii) okubeerawo obulungi, kyokka nga mu byantabagana na mu byanfuna (mutendera gwa bwesobozi); iii) n’okubeerawo obulungi, wabula mu ngeri ya kinnaddiini era ya kinnabumanyi (mutendera gwa bumanyirivu). Olwo nno lwokka, bwe tugendako ewala okusukka ku mitendera gino (kati egibuutikidde), lwe twetaba ku batuuze b’omu bwakabaka bwa Katonda, abo abakulemberwa Mwoyo wa Katonda ne Mukama Kigambo wa Katonda, “oyo ebintu byonna mwe byatonderwa” (Jn 1:3).

Mu kitangaala ekiva ku Kristo omuzuukivu era agulumizibwa, mwe twekebejjera ebikolwa byonna (ebyafaayo) eby’ensi yaffe Yuganda, okusingira ddala nga ensi ebuutikiddwa Obukristo. Era mu ngeri y’obunnabbi tulangirira nti, mu linnya lya Mukama Katonda, tuwakanya “Omusuusuubyo gw’Ebiteemala” ogwo ogugobererwa Ebyobufuzi. Kubanga enkola eyo etutwala si ku kirungi ekinnabumu eri olulyo olwobuntu (YUGANDA gye TWAGALA), wabula ku Bwemalirizi (bunnakyemalira Mk 8:36), wamu n’ebivve byabwo byonna, nga bwe byeragira mu ntabagniro yaffe leero. Obusolowavu, obudyesi, omululu gwa ssente, okubuzaabuza, obukumpanya, obulyake, obulimba n’embeera zonna ezitawa kitiibwa bwanga obwomuntu (kufutyanka, ettemu), bino byonna bivve ebizaazibwa okuva mu Musuusuubyo gw’Ebiteemala oba mu Bwemalirizi.

Yuganda nsi nnungi era ngagga (kkula) mu byombi, obugagga obwobutonde n’obugagga obwobuwangwa. Naye, bwe tugugguubirira ku kugikulaakulanyiza ku musingi gw’ebivve, awatali kuzimba buvumu, olwo tuba tulaga bulazi nti, tetulina busobozi (kwagala kwerende) okulondako Obwakabaka bwa Katonda mu kifo ky’obwakabaka bw’Omubi. Okuzimbira ensi yaffe ku musingi gw’obuvumu ekyo mu kiseera kyekimu kwe kufuba okusangulirawo ddala ebivve mu makkati gaffe (Mt 6:10). Wewaawo, okusangulirawo ddala ebivve okuva mu makkati gaffe si mulimu mwangu. Tegusoboka kutuukirizibwa na kusaasaanya mmundu buli wantu kyokka, ko na bakuumi ba butebenkevu mu buli kifo. So nga, yadde tekimala okufulumya emizingo n’emizingo gy’amateeka n’obukwakkulizo ku buli nsonga. Ekyo na kyo tekisangulirawo ddala bivve kuva mu makkati gaffe (Ps 127:1). Ekyetaagisa ekisinga obukulu mu kikolwa kino, kwe kulima  bulungi amaanyi g’ “okwetaaga okwerende” mu batuuze Abannayuganda. Olwo fenna tusobole okufuuka abantu abeerende (bannaddembe) okulondawo obuvumu obutwala eri ekirungi ekinnabumu ekyobuntu, mu kifo ky’okulondawo ebivve.

Olwekyo, tukoowoola buli omu naddala abakulembeze abaluŋamya mu nsi yaffe, baveeyo mu kizikiza ekikutte ne mu butamanya kiruubirirwa kya butonde bwa bantu ekituufu, ekirungi ekinnabumu eri olulyo lw’abantu. Leka fenna tweyimbe wamu okuzimba Yuganda gye twagala. Twagaliza mwenna Okuyitako (Easter) okusussisa ebivve okudda mu buvumu, n’okuva mu kufa okudda mu bulamu obutaggwaawo.

+ METROPOLITAN JONAH LWANGA

UGANDA ORTHODOX CHURCH

1 thought on “OBUBAKA BW’AMAZUUKIRA (2021) ERI EGGWANGA – Metropolitan Jonah Lwanga”

  1. Happy Pascha to everyone most especially Orthodox believers worldwide.
    Kali Anastasi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *