Abooluganda abagalwa
Kristo azaaliddwa!
Kigambo wa Katonda Patri, byonna mwe byatonderwa, azaaliddwa nga Kristo mu mubiri, Omwana w’Omuntu, okuyitira mu muwala Embeerera Mariya ne Mwoyo Mutuukirivu, nga n’Abalanzi bwe baalangirira okuva eddanedda! Jn 1:1-2. Dan 7:13-14. Lk 1:26-38. Isa 7:14.
Omuntu!, omutondere mu “ngeri ne mu bufaanane bwa Katonda”(Gen 1:27), bwe yafuuka omuyonoonefu olw’ekigwo mu kibi (Gen 3), n’ajjula ekkokoobereze, yadda wala okuva ku bulamu obunnakatonda. Omuntu ono Omutonzi gwe azza obuggya (Jn 1:10). Kubanga, agulumizibwa mu Kristo Omwana w’Omuntu! Jn 13:31-32.
Mu nnyimba ezo, Ekklesia etukoowola tuveeyo mu kigwo ne mu kubulubuutana olw’ekibi, ekyo ekisimbuka ku mulabe waffe Sitaani (Gen 3). Kubanga mulabe ono ye atwambulamu “engeri n’obufaanane” obunnakatonda, n’atwambaza obugeŋenyufu bwe n’obubi (vices Jn 8 : 44) obubwe ye. Olwo ne tulemesebwa okwambala obulungi n’obunekevu (virtues) bwa Katonda waffe! So nga Katonda waffe ayagala tuddeyo ku butonde ne ku buwange obwobutafa. Ayagala tuveeyo mu bwewagguze ku Ye ne ku biragiro Bye ebitukuvu gye tuli ( Ex 20 : 1-17).
Omuteeru guno gwe guleetesa mu nsi Omwana Kigambo, byonna mwe byatonderwa, nga antuwadde mu Kristo Yesu, alyoke atuggyeyo mu bwewagguze. Kubanga eyo mu bwewagguze ku Katonda, gye tufuukira ababizze (vicious), abavunnamira ebyonziira (ensimbi), mu kifo ky’okusinzanga Katonda waffe (Ex 20 : 3). Eyo mu bwewgguze gye tubeerera abalimbirimbi, abalayirira obukumpanya, abanyoomoozi b’amateeka amatondekesi (creational laws) n’amateeka amabangirizisi (constitutional laws), bakyetwala, abatemu, abenzi, bakkondo, abafere, abeegombi b’ebitali binnakatonda newankubadde okuba ebinnabuntu! Mukama Katonda waffe ayagala tuveeyo mu bino byonna ebitali binnakatonda, tuddeyo ku kigendererwa ky’obutonde bwaffe (Gen 1:26). Ensonga eno nkulu nnyo eri olulyo lw’abantu bonna ku nsi, n’okusingira ddala eri eggwanga lyaffe lino Yuganda, eriboyaanira leero mu bumenyi bw’amateeka amatondekesi n’amabangirizisi.
Muganda waffe mu buntu, Pawulo Omunnakatonda, mu bbaluwa ye eri Abakolosaayi 3:1-10, atusibirira entanda ku nsonga eyo waggulu n’ebigambo bino wammanga: “…..Mulowooze nnyo ku bya waggulu eyo Kristo gy’ali ng’atudde (mu Kigambo) ku ddyo wa Katonda Patri ( Jn 1:1). 2 Mulowooze nnyo ku bya waggulu okukira ku bya wansi. 3 Kuba, (bwe mubatizibwa Jn 3:5) muttizibwa mu bikadde ebinnabyansi, obulamu bwammwe ne bufuuka bwekwese mu Kristo ne Katonda. 4 Ekyo kitegeeza nti, Kristo Kigambo oyo obulamu bwammwe bwennyini, bw’alirabika nammwe olwo awamu na’Ye mulirabikira mu ttendo! (Kwe kugamba nti, Kristo Kigambo bw’ategeereka, oyo obulamu bwaffe ddala, olwo naffe awamu na Ye tutambulira mu bwakabaka bwa Katonda!). 5 Olwekyo, muttize okwegomba okubi okuli mu mmwe ku nsi: obwenzi, obugwagwa, obukaba, okwegomba okwensoyi, n’omululu, ebyo byonna nga kwe kusinza ebitali Katonda. 6 Katonda waffe asunguwalira abakola binno, nga batabani b’obujeemu. 7 Na mmwe ebyo bye mwakolanga, bye mwatambulirangamu edda, nga mukyalamira mu ebyo. 8 Kaakano nno mubireke ebyo byonna: obusungu, ekiruyi, ettima, okuvvoola, n’ebigambo ebiwemula bireme kuyita mu kammwa kammwe. 9 Temulimbagana. Kubanga mweyambula omuntu owedda n’ebikolwa bye ebibi, ne muyambala omuntu omupya (Kristo) n’ebikolwa bye ebirungi. 10 Omutonzi oyo gw’ agenda ayongera okuzza obuggya mu ngeri ne mu bufaanane bwe, mulyoke mumutegeere bulungi”.
Labayo ensonga y’ekiruubirirwa ky’obutonde bwaffe bw’eri enkulu ennyo. Ne Katonda yennyini agyetabamu kulw’okuzza olulyo lw’abantu obuggya. Naye ensonga eno n’omuteeru gwayo tebinnategeereka bulungi eri abantu abasinga obungi, si wano mu Yuganda wokka, wabula ne mu nsi yonna. Abasinga obungi leero kino kye bayita mu bimpi ate mu buwubivu, nga okuba “born again” (okuzaalibwa omulundi ogwokubiri Jn 3: 3,7). Kyokka, nga bwe tulaba wano mu Pawulo Omunnakatonda, tekiba kuzaalibwa buzaalibwa mulundi ogwokubiri, wazira kuzzibwa buggya, kutondekebwa buto, kuzaalibwa kuva waggulu mu Ggulu, n’amazzi era ne Mwoyo Mutuukirivu, mu byama by’obunekevu bw’omuntu (mysteries of human virtues), mu kikula ne mu bikolwa; nga abantu abazaaliddwa Katonda, abaana (abatabani ) ba Katonda ddala, mu Kristo Kigambo ne Mwoyo Mutuukirivu. Ro 8: 1-15,19,23,29.
Okusinziira ku bulyeryebule obwo mu bimpi, okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda Patri mu Kristo Yesu (Christmas) tekusaanidde kutwalibwa nga kya kusaagirako mu bulamu bwaffe. Bwe tutwala okuntuwala kwa Kigambo mu Kristo nga ekintu ky’okusaaga, olwo tuba tulemereddwa olugendo lw’okuvumbagira “engeri n’obufaanane” bwaffe ku Katonda, naddala nga eggwanga lyonna mu kutwalira awamu. Kubanga, mu “ngeri n’obufaanane”(mu butonde bwaffe) mwe muli eminekezo (virtues) gy’ekyama ky’omuntu, ekyo okuzimbirwa emigaso (values) gyonna mu mirimu gyaffe. Kwe kugamba nti, tekisoboka kuzimba ggwanga lino ku migaso ku bwagyo, nga tegirina musingi gwa minekezo (virtues) mu bantu nga buli omu. Okugeza emirembe(peace) mu ggwanga gizimbirwa ku ddembe (freedom) lyennyini erya buli muntu, so si ku maanyi ga mmundu! N’amazima gennyini gawambaatirwa muntu alimu okukkiriza, so si obutakkiriza. Era n’obutebenkevu (security) mu ggwanga busimbuka mu bantu kinnoomu abalina obwekulembevu, so si obnnakyetwala (democratism).
Mu kusembayo, okuntuwala kwa Kigambo wa Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, -Amazaalibwa g’Omwana w’Omuntu atuukiridde -, kikolwa kya Katonda waffe, kulwa kuddaabiriza “ngeri na bufaanane” bwa buli muntu mu kwesigama ku Katonda. Naffe nno, Abannayuganda, nga abantu, kitwetaagisa okutondekebwa obupya mu kikula n’obunnakatonda, obwo obulimu eminekezo (virtues) egizimbirwako emigaso (values) gy’emirimu gyaffe. Olwekyo, Abannayuganda mwenna, mu biti byamwe, tubaagaliza ekyetaago kyammwe ekitandikireko kituukirizibwe. Muzaalibwe Buggya mu ngeri ne mu bufaanane ku Katonda. Sekukkulu Ennyuvu n’Omwaka omuggya omulungi!